Lines Matching refs:ye

22 Buli muntu agwana afune eddembe eryo gerwako mu KIWANDIIKO kino awatali kusolola kwona okw'engeri yonna okuyinza okusinziira ku:- ggwanga, langi y'olususu okuba omusajja oba mukazi, olulimi, eddini endowooza ye ku by'obufuzi oba ekintu ekirala ensi oba abantu mwasibuka, ebintu byalina obuzaale bwe oba ensonga endala yonna.
73 1. Omusajja oba omukazi omukulu atuuse okwesalirawo, taakomerwenga mu ngeri yenna obutawasa oba okufumbirirwa n'okuzaala abaana, olw'olulyo mwasibuka, olw'eggwanga lye oba lwe'eddini ye. Omusajja n'Omukazi balina onuyinza n'eddembe ebyenkanankana nga tebannafumbiriganwa, oba nga bafumbiriganiddwa oba oluvannyuma lw'obufumbo bwabwe okusattululwa.
85 Buli muntu alina eddembe ery'okwerowooleza okwawula ekirungi n'ekibi n'okulondawo eddini gyanasoma. Eddembe lino lizingiramu obuyinza okukyusa eddini oba enzikiriza ye, n'obuyinza obubwe ku lulwe oba wamu n'abantu abalala, mu lwatu oba mu kyama, okwolesa eddini oba enzikiriza ye, ngayigiriza oba ngateeka mu nkola eddini ye byemulagira, nga asinza oba ngakuuma byemugamba.
88 Buli muntu wa ddembe okubeera n'endowooza ye era n'okwogera oba okuwandiika nga bwalowooza. Eddembe lino lizingiramu n'ebeetu ery'okugugubira ku ndowooza ye awatali kitaattaagaayizibwa, okusaka okufuna wamu n'okusaasaanya amawulire n'ebirowoozo okuyita mu mikutu gyonnna watali kukomerwa.
98 2. Buli muntu alina obuyinza obwenkanankana n'obw'omulala obumusobozesa okutuukirira ebitongole bya gavumenti y'ensi ye ebiweereza abantu bonna awatali kukugirwa.
108 2. Buli mukozi ateekwa okussasulwa empeera entuufu emuggyamu, emusobozesa ye yennyini n'abantu ab'amaka ge okweyimirizawo nga abantu balamu. Bwekiba kyetagisa empeera y'omukozi eyinza okwongerezebwako ensako endala ezimusobozesa okwetaasa ebyo ebimugwako ng'omuntu nga tabyetegekedde.
115 Buli muntu ateekwa okuwummula n'okuweera. Asaana akole essawa zakigero buli lunaku era abeere n'ekiseera eky'okwewummuzaamu buli mwaka, kyokka nga empeera ye ey'ekiseera ekyo emuweebwa.
118 1. Buli muntu ateekwa okubeera n'omutindo gw'obulamu ogumusobozesa okubeerawo nga mulamu bulungi mu mubiri , ye yennyini n'abantu abamakage, ng'afuna emmere, ebyambalo, ennyumba n'okujjanjabwa singa alwadde era nga asobola okweyambisa ebyo gavumenti y'eggwanga lye by'ekolera abantu baayo okusitula embeera y'obulamu bwabe. (Social Services). Buli muntu, asaana okuyambibwa aleme kweralikirira bwaba nga omulimu gumuweddeko, oba afuuse kateyaamba oba afuuse Ssemwandu oba Nnamwandu oba ngatuusibbwa mu mbeera etemusobozesa kufuna nsiimbi kyokka nga kino siyakyeretedde yekka.
138 1. Buli muntu alina obuvunanyizibwa eri abantu b'ensi ye, kubanga bano bokka abamusobozesa okukikukulanya mumpisa ne mungeri endala zonna.