Lines Matching refs:n

4 Ekitiibwa ky'omuntu eky'obutonde; okwenkanankana, wamu n'obuyinza obutayinza kugyibwawo ebyabantu bonna, gwe musingi gw'eddembe; obwenkanya n'emirembe mu nsi.
8 Ekibiina ky'amawanga amagatte, mu kiwandiiko kyakyo kikakasa nga bwekikkiririza mu ddembe ly'obuntu era ne mu kittibwa n'omuwendo gw'omuntu era kimaliridde okukubiriza abantu okugenda mu maaso n'okulwanyisa omutindo gw'embeera y'obulamu bwabwe mu ddembe erisingawo.
10 Amawanga g'amemba geeyamye okukolaganira awamu n'ekibiina ky'Amawanga Amagattere mu kukubiriza abantu abali okussamu ekitiibwa n'okukuuma eddembe ly'obuntu n'emisingi gyalyo.
12 Okutegeera obulungi obuyinza (rughts) n'eddembe ly'obuntu kikulu nnyo mu kutuukiriza obweyamo obwo mubujjuvu.
16 Abantu bonna abali wonna olw'okubeera ne'kiruubirirwa ekimu eky'amawanga gonna, basaanye bulijjo okujjukiranga EKIRANGIRIRO kino, wamu n'okulafuubana okuyigiriza, okugunjula n'okukubiriza abantu okussaamu ekitiibwa eddembe ly'obuntu, okutangaaza amateeka gaalyo n'okugakuuma, mu bantu abali mu bitundu ebiri mu buyinza bwabwe.
19 Abantu bazaalibwa nga balina eddembe n'obuyinza ebyenkanankana, batondebwa nga balina amagezi era nga basobola okwawula ekirungi n'ekibi bwebatyo, buli omu agwana okuyisa munne nga muganda we.
29 Tewali muntu assanidde kufugibwa buddu, obuddu n'obusuubuzi bw'abaddu tebukirizibwa mu nsi.
35 Buli muntu amateeka gateekwa okumubala era n'okumuyisa ng'omuntu buli wantu wonna.
52 2. Tewali muntu n'omu anabalibwanga nga azzizza omusango ogumubonerezesa, kino nga kisinzira kukikolwa kye yakola oba kyatakola, mu kiseera ekyemabega, kyokka nga mu kiseera ekyo ekikolwa kyeyakola oba kyeyalemwa okukola kyali tekittekwa kumubonerezesa, okusinziira mu mateeka g'eggwanga eryo oba ag'amawanga amalala Bwanabanga ateekwa okubonerezebwa mu kiseera weyazziza omusango ogwo.
55 Eddembe ly'omuntu yenna eyo gyabera amaka ge era n'ebbaluwa ze tebitaataganyizzibwe nga oba okwazibwa mu ngeri etegoberera mateeka, so n'erinnya lye teriweebuulwenga oba okulebulwa. Buli muntu ateekwa okukuumibwa amateeka aleme kutaataaganyizibwa oba okulumbibwa mu ngeri eyo.
60 2. Buli muntu wa ddembe okufuluma okuva mu ggwanga lyona, kino nga kitwaliramu n'eggwanga lye, wamu n'okudda mu ggwanga lye.
63 1. Omuntu ayigganyizibwa waddembe okunoonya obubudamo mu ggwanga eddala era n'okusanyukira mu bubudamo obwo.
73 1. Omusajja oba omukazi omukulu atuuse okwesalirawo, taakomerwenga mu ngeri yenna obutawasa oba okufumbirirwa n'okuzaala abaana, olw'olulyo mwasibuka, olw'eggwanga lye oba lwe'eddini ye. Omusajja n'Omukazi balina onuyinza n'eddembe ebyenkanankana nga tebannafumbiriganwa, oba nga bafumbiriganiddwa oba oluvannyuma lw'obufumbo bwabwe okusattululwa.
80 1. Buli muntu waddembe okwefunira ebintu bye kululwe oba nga yeetabye ne n'abantu abalala.
85 Buli muntu alina eddembe ery'okwerowooleza okwawula ekirungi n'ekibi n'okulondawo eddini gyanasoma. Eddembe lino lizingiramu obuyinza okukyusa eddini oba enzikiriza ye, n'obuyinza obubwe ku lulwe oba wamu n'abantu abalala, mu lwatu oba mu kyama, okwolesa eddini oba enzikiriza ye, ngayigiriza oba ngateeka mu nkola eddini ye byemulagira, nga asinza oba ngakuuma byemugamba.
88 Buli muntu wa ddembe okubeera n'endowooza ye era n'okwogera oba okuwandiika nga bwalowooza. Eddembe lino lizingiramu n'ebeetu ery'okugugubira ku ndowooza ye awatali kitaattaagaayizibwa, okusaka okufuna wamu n'okusaasaanya amawulire n'ebirowoozo okuyita mu mikutu gyonnna watali kukomerwa.
91 1. Buli muntu ayinza okwetaba mu nkugaana ez'eddembe wamu n'abantu abalala.
93 2. Tewali n'omu anakakibwanga okwetaba mu nkunganaa awamu n'abantu abalala.
98 2. Buli muntu alina obuyinza obwenkanankana n'obw'omulala obumusobozesa okutuukirira ebitongole bya gavumenti y'ensi ye ebiweereza abantu bonna awatali kukugirwa.
103 Buli muntu wa ggwanga alina obuyinza okutuula ne bantu banne ngatebenkedde mu ddembe. Kino kimusobozese okutuuka ku biruubirirwa eby'ekitiibwa by'obuntun'okulongongoosa empisa ze, okuyita mu kukola kw'eggwanga lye oba okukolagana n'awamanga nga amalala, okusinziira ku nteekateeka n'enkozesa 'obugagga bwe'eggwanga mu by'enfuna, ey'embeera z'abantu n'eby'obuwangwa ebitayinza kwewalika mu kukulakulana kuno.
106 1. Buli muntu alina eddembe n'obuyinza okukola. Ateekwa okwerondera ekika ky'omulimu ekimuggyamu era ekirina embeera emusobozesa okukola obulungi, wamu n'okukirizibwa oba okuyambibwa singa omulimu ogwo gumuweddeko.
108 2. Buli mukozi ateekwa okussasulwa empeera entuufu emuggyamu, emusobozesa ye yennyini n'abantu ab'amaka ge okweyimirizawo nga abantu balamu. Bwekiba kyetagisa empeera y'omukozi eyinza okwongerezebwako ensako endala ezimusobozesa okwetaasa ebyo ebimugwako ng'omuntu nga tabyetegekedde.
115 Buli muntu ateekwa okuwummula n'okuweera. Asaana akole essawa zakigero buli lunaku era abeere n'ekiseera eky'okwewummuzaamu buli mwaka, kyokka nga empeera ye ey'ekiseera ekyo emuweebwa.
118 1. Buli muntu ateekwa okubeera n'omutindo gw'obulamu ogumusobozesa okubeerawo nga mulamu bulungi mu mubiri , ye yennyini n'abantu abamakage, ng'afuna emmere, ebyambalo, ennyumba n'okujjanjabwa singa alwadde era nga asobola okweyambisa ebyo gavumenti y'eggwanga lye by'ekolera abantu baayo okusitula embeera y'obulamu bwabe. (Social Services). Buli muntu, asaana okuyambibwa aleme kweralikirira bwaba nga omulimu gumuweddeko, oba afuuse kateyaamba oba afuuse Ssemwandu oba Nnamwandu oba ngatuusibbwa mu mbeera etemusobozesa kufuna nsiimbi kyokka nga kino siyakyeretedde yekka.
120 2. Abakyala abazadde wamu n'abaana bateekwa okulabirirwa n'okuyambibwa mu ngeri ey'enjawulo. Abaana bonna oba bazadde baabwe bafumbo mu mateeka oba si bafumbo bagwana okulabirirwa kyenkanyi nga abantu.
123 1. Buli muntu ateekwa okuyigirizibwa. Okuyigizibwa kunabanga kwa bwerere mu myaka egisooka ne mu masomero agasookerwamu. Okuyigirizibwa okusookerwako kunabanga kwa buwaze. Amasomero agayigiriza eby'emikonono n'emirimu egy'ekikugu ganaateekebwangawo, era buli muntu alina ebisannizo n'obusobozi anaweebwanga omukisa okusomera mu magunjukiro agawaggulu.
125 2. Ebyenjigiliza binaluubiriranga okugunjula abantu muby'amagezi n'empisa nga biteeka essira ku kusaamu ekitiibwa eddembe ly'obuntu n'emisingi gyalyo. Binakubirizanga okuteegeeragana okw'abantu ab'ensi n'eddini ez'enjawulo; era binakolaganiranga wamu n'ekibiina ky'Amawanga Amagatte mu kuleetawo emirembe mu baantu.
130 1. Buli muntu waddembe okwetaba mu by'obuwangwa ebyensiye era n'okusanyukira ebikolebwa abalina amagezi oba ebitone ebyobuwangwa, n'okugabana ku miganyulo egivudde mukukulakulana kwa sayansi.
140 2. Omuntu nga akaayanira eddembe lye ery'obuntu ekinamukolangako kyokka ge mateeka ago agateekebwawo okunyweza, okutongoza wamu n'okusaamu ekitiibwa eddembe ly'abalala n'okukuuma empisa ennungi mu bwenkanya oba okukuuma eddembe lya bonna oba amateeka ago ogakuuma obulungi bwa abantu bonna ab'eggwanga eriddukanyizibwa ku demokolasi.